Poliisi ekutte abayizi 54 abaasangiddwa ku ppaate ku kyalo Kibulooka, Nansana West Ward mu Monicipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.
Abayizi baakwatiddwa oluvanyuma lw’abatuuze okutemya ku Poliisi nga bakooye ebidoongo okuwogana.
Poliisi okutuuka ng’abayizi ba Old Kampala Secondary School nga kuliko abaana abawala 8.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti abayizi bali ku Poliisi mu Lubigi ne Nansana.
Owoyesigyire agamba nti Poliisi mu kwekebejja ekifo, kwe kuzuula ensuwa za Shisha, enjaga ne baketi omuli eby’okunywa ebitabuddwa ebimanyiddwa nga panchi.
Ku Poliisi, baguddwako emisango gy’okusangibwa n’ebiragalaragala, okunywa ebiragalaragala n’emisango emirala.
Owoyesigyire agamba nti mu kiseera kino, bali mu ntekateeka okutegeeza ku ssomero kuba abayizi bayinza okubatwala mu kkooti essaawa yonna.