Omusajja abadde mu kaboozi ne muk’omusajja akiguddeko, awonye okuttibwa abatuuze. Omusajja kigambibwa avuga takisi, asangiddwa ng’ali ne maama Allen mu kaboozi akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande.
Taata Sam musajja mutemi wa nnyama mu bitundu bye Kawempe era agamba nti aludde ng’afuna amawulire nti mukyala we alina omusajja omulala.
Taata Sam agamba nti sabiiti ewedde yasabye neyiba okumukubira essimu singa maama Allen addamu okuleeta omusajja mu nnyumba.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 10, taata Sam yafunye essimu nga maama Allen ali n’omusajja mu nnyumba.
Yafunye bodaboda okwanguwa okutuuka awaka era omukyala yamukutte lubona ng’ali kusinda mukwano. Amangu ddala taata Sam yakutte ejjambiya okutematema omusiguze.
Omusiguze yasobodde okusamba oluggi okudduka wabula taata Sam yasobodde okutema omusiguze ejjambiya kabina wadde teyamukutte bulungi.
Abatuuze wakati mu kusakaanya, omusiguze kigambibwa yasobodde okufuna bodaboda okudduka nga yasobodde okuleka essaati mu nnyumba.
Oluvanyuma lw’omusiguze okudduka, taata Sam yalumbye mukyala we ng’akutte ejjambiya wabula ekirungi, yataasiddwa abatuuze kuba yabadde ayinza okumutta oba okumutusaako obulabe. Wadde balina omwana omu, mu kiseera ekyo omwana yabadde ali wa neyiba ali ku ttiivi.
Taata Sam yalangiridde mu lwatu nti maama Jane amukooye era talina kudda mu makaage. Taata Sam abadde apangisa Lugoba – Kawempe era abadde yakamala n’omukyala ebbanga lya myaka 5.
Abamu ku batuuze bavumiridde eky’omukyala maama Allen muk’omusajja okuleeta omusajja mu nju ya bba, ekikolwa eky’obwenzi.