Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza ku nsonga y’abayizi ku ssomero lya Nakanyonyi School Secondary School mu disitulikiti y’e Mukono okulya emmere egambibwa okubaamu obutwa.
Essomero lya Nakanyonyi School Secondary School liri ku musingi gwa kkanisa.
Omu ku bayizi (amannya gasirikiddwa) agamba nti oluvanyuma lw’okulya emmere (kawunga n’ebijanjalo) abaana kwekufuna embutto.
Abayizi abasukka 150 mu kiseera nga bali mu mbeera mbi, essomero lyasobodde okubaddusa mu malwaliro ag’enjawulo omuli Nagalama Hospital, Mukono CoU Hospital, Mukono General Hospital, Kayunga Hospital ne Kawolo Hospital.
Ettaka okuli Nakanyonyi Secondary School kubaddeko okusika omuguwa wakati w’ekkanisa n’abatuuze.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti ekirungi tewali mwana yenna afudde.
Onyango agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko abayizi okulumwa embutto.
Mu kiseera kino, abamu ku bayizi bazzeeyo ku ssomero wabula abamu ku bazadde bakyasobeddwa.
Bagamba nti Poliisi erina okunoonyereza okuzuula oba ddala kituufu abayizi baweereddwa obutwa.
Bwe kiba kituufu, essomero liyina okuvaayo okwewozaako lwaki bagayaavu ku nsonga y’ebyokwerinda.