EYAZINIRANGA MUSEVENI MUKUWENJA AKALULU ALAAJANA LWA BUJJANJABI “OMUGANDA AGAMBA NTI EKKADDE ERYALI EZZINYI OLIRABIRA KU KUBENDABENDA”

Muzzukulu wa Kasujja, Moses Kawooya kaakano atemera mu gy’obukulu 71, ekirwadde kye eky’omugejjo oMungereza ky’ayita “Obesity” yakikozesa okwenogeranga ennoso, bweyazinyisanga olubuto olwalimu ebibajjo ebibiri ekyacamulanga abalabi, abamu baasagambizanga, abalala ne basugumbiza ate abandi nebeesisiwala okukira azina n’owenkufu nga batya nti watya olubuto luno lungwira!
Anti yalina omuze oguzina ng’asemberera ddala emmeeza okutudde abakulu asobole okubakuba oluseke ng’enjogera y’ennaku zino bw’egamba.
Teyakoma ku kweyagaliza yekka, Kawooya yakola ekibiina kyeyatuuma SAMADS, era abazinyi ab’amazina ag’ekinnansi ab’enjaawulo baakyegattamu wamma ggwe ekibya nekibula omukombi.
Mu video z’abayimbi abaaliko mu myaka giri ntegeeza egya 2000 nga Daniel Kazibwe munnaNrm ayitibwa Ragga Dee, mu luyimba lwe “Ndigida” olwabuna eggwanga nsalo ku nsalo, abalabi baanyumirwa nnyo Kawooya embiibya n’enfukuta y’olubuto mu lutambi olwo wamma ggwe n’abaali bamulira omuwulire baamuggwa ennyalwe.
Mukwatankasi ya ggwanga okugolomola, Geneerali Yoweri Tibuhaburwa Kaguta Museveni, yatuula mu kafubo ne musajja ono era ebyavaayo twala mmotoka ekika kya Costa nga ziwandiikiddwako SAMADS, wuuyo Kyengera, Nsambya ne siteegi ez’enjawulo nga ne Kawooya ono yennyini tumulaba azituula ku nkata.
Munnange bangi ku mikwano gye bakkiriza nti era kale oyo agobolodde, anti eby’obufuzi bya wano kulya, kiringa kubeera mu bbaagiro. Ow’omutwe akuuliita nagwo, owa kabuuyi naye bw’atyo kyokka embwa ekuliddemu omuyiggo bw’ekulaba nga n’obulenge obututte, emanya nti guno muyiggo Nnamwabukirabusa guli gwetugamba nti tegubamuyiggo.
Ensonga ya Kawooya eno eri eky’okuyiga kinene kyetutalina kubuusa maaso. Obuweereza oba service delivery bwebwalema gavumenti, yatandika okugula abantu ssekinnoomu efune obuganzi.
Naye nebw’enaabagula nebakola businesses, kkiriza gaana emisolo egyavuza bannansi abalina okuwagira businesses zammwe, era kijjakubaviirako mwattu okweyaguza oluggyo.
Nebwebanaakuwa omudidi nga economy tebagisalidde magezi kutereera, era byonna by’okola bijjakuzingama kubanga okolera mu bantu abaavu ennyo nnyini ddala, ekitegeeza nti akuwadde akuwadde byoya bya nswa takwagalizanganako.
Oyo Kawooya nze nnamumanya wennabeera omuto okuva mu nsonda ezesigika ng’embeera ye yegombesa. Kubanga nnasomako n’abenju ye.
“OBULUMI BUNGI MU BULAGO NEBWEMBA MMIRA MMERE NFA OBULUMI” Bigambo bya Kawooya kati asiba ebikutuka, alaajanira mukamaawe Museveni naawe eyeyinza tekikugaana kumujuna ajjanjabwe.

Recommended For You

About the Author: admin