OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses Awutudde mune Umar Ssemata namulangila okuba’ mutiitiizi n’asaba babiddemu

By Wasswa Denis: Ekiro ekikeesezza leero ku Ssande  Umar Semata ebigambo bimuweddeko Golola Moses bw’amukubye ensambaggere ezimulese nga takyavaamu na mwasi mu round satu zoka mu lulwana olubadde olwa vaawompitewo rwebatuumye clash of titans.

Golola ne Ssemata battunkidde ku Freedom City wakati mu nnamungi w’omuntu mu lawundi satu zoka nga Ssemata akkiriza nti mu butuufu Golola musajja mu kazannyo kano.

Battunkidde mu buzito bwa ‘Middle’ mu nnwana eya K1 ekozesa amaviivi, teke n’ebikonde ng’eddenge evvanyuma lyagenze okukommontebwa  Ssemata aluwangulidde bamuwutudde nga avaamu nomusaayi.

 

Wabula Ssemata nga yaakawangulwa yategezeeza abawagizi be nti tamatidde musajja n’asaba babatereewo olulwana lw’okuddingana alage Golola nti yamugwiridde bugwirizi Golola naye ky’atawakanyiza.

Please follow and like us:
error0
Loading...