By: Shifrah Kayaga: Ensonga ekyali kumimwa jabantu yeya Naureen Nalubega wamu nomuyimbi Geosteady nga bano egulo baabadde mudwalilo okufuna DNA kumwaana omukyaala gweyabadde agamba nti wa Geosteady.
Wabula ebyavudde mu DNA byalazze nti ekituufu omwaana si’wa Geosteady ella mubwangu dala kitaawe wo’mwana naavayo nga munyiivu nga yeebuza lwaki mukaziwe yeesibye kumuyimbi ono okumwoononela elinya.
Naye ekili kumimwa jabantu kili’nti watya nga Geosteady yali alozezaako ku suukali wa Naureen kuba omuntu tasobola kuva elli mubayimbi bonna neyeesiba kumuntu omu yekka. Newankubadde yandiba yabadde azanya katemba naye tukakasa tutya nti teyasasudwa busasulwa okuva kunsonga eno elinya lyomuyimbi lileme kwoononeka.
Ye lwaki mubwaangu dala omwaami agamba nti ye’ba wa Naureen yavudeyo okwelaga mubantu. Watya nga bino byona byaabadde bipange?