Tukiliza nti winne nwagi yandiba yabadde nebizibubye okusobola okwefuukulila bwatyo kubwana obuto kuba tetumanyi oba omuyimo gwabadde gumusuumbuwa oba nedda.
Naye, ensonga zokutuwoganila kubyabadde ku st Mary’s kitende tuzikooye. Ekisooka bano abaana baabade bakulu ekimala ella bweweetegeleza abalinye ku stage baabade baweza emyaka ekumi nomunaana naye okuzina nabo kyaafuse ensonga enkulu nga oyinza okulowooza yabeyambulidde.
Abaana banno singa baabade baagala muyimbi wokuyimba buyimbi bandibadde bayitta abantu abalala omuli fresh kid oba Judith babirye oba levixone naye bwebaba basazeewo kulonda Winnie nwagi, kitegeeza baabade betagga muntu abasabalaza.
Yena gwekyalumye sonka olowooze kunsonga zino olyooke ogende nga oyogela mbu Winnie nwagi yewebudde. Okuyimba business ella buli omu alina edembe okola buli kisoboka okulaba nga asanyusa ba fan bbe