OKUTTA’BANTU KUTULEETELA SENTE NYINJI NOKUSINGA KYEMULOWOOZA NOLWEKYO, TETWEJUSA BYETWAKOLA – ABATEMU BA BODA BAYATUDDE

 

By: Shifrah Kayaga: Ebipya bikyajja ku bavubuka abaakwatibwa kukatambi oluvanyuma lwokutugumbula owa boda nebamukuba nakatayimbwa okutuuka okuffa.

Bano oluvanyuma bakwatibwa police ella bwebatyo nebalolonkoma ebyaama nga bwebazze batta abantu ella boda zino baziwa bakamababwe oluvanyuma nezisindikibwa e’congo nezitundibwa.

Mubaakwatibwa mwemwali omuvubuka omu eyali amanyidwa nga Mugisha John Bosco ella nga ono yali yakazibwaako lyamukiga mpozi nomulala eyali yeeyita young mulo.

Banno baategeza nti bazze bakola ekintu kino ella nga babade basasulwa bulungi. Mission yabwe empya yabadde yakunoonye oyo yenna abadde asasanya akatambi nga batugumbula owa boda ella nga babadde bagenda kumukolako mubwangu bamuyigilize esomo.

 

Recommended For You

About the Author: admin