BEBE COOL AWANDUDDE OMULILO KUMUWAGIZA WA NRM EYAFUMITIDWA EMISUMAALI MUMIKONO – “TETULI BAAKUTUULA PAKA NGA TUBAFUNYE”

By: Shifrah Kayaga: Oluvanyuma lwomuwagizi wa NRM okuwambibwa abantu abatanategeelekeka nebamuwatula emisumaali mubibatubye nga kano kaabadde nga akabonelo akatiisatiisa, Omuyimbi bebecool avudeyo nawela obutatuula paka nga bazudde abatugumbuzi banno.

Bangi kubantu olwalabye ebifaananyi byomuvubuka ono, baakakasiza nti kano kandiba nga kakodiyo kakukomyaawo NRM mpozzi nokujiwulililako enaku olwa basobole okuwangula akalulu ka 2021.

Kyoka bbo aba NRM omuli nne bebecool basambagaze ebiboogelwaako nga bategeeza nti kino tekisobola kubeela bwekitti kuba bbo bakakasa tebalina budde bukola katemba bwati ella kyadaaki balina okuteekamu amanyi okuzuula abatemu banno.

Amawulile getufunye olwaalelo gagamba nti abawagizi ba NRM beyiye mudwaalilo omubadde mujanjabibwa omuvubuka ono nebamujawo mukimpowooze ella nga mudwaalilo edala jatwalidwa mpaawo amanyiiyo.

Recommended For You

About the Author: admin