Luno lwebayita olutalo lwabakulu nabakulu naye ne Catherine kusaasira yakiwulidemu oluvanyuma lwokukiliza omwaami Ronald mayinja okuyimba ku concert yye wabula ono nasalawo okuyimba enyiimba ezisoomoza omukulembeze wegwanga.
Kinajukilwa nti concert ya Catherine kusaasira yaliwo ku Friday ella nga abantu banji omuli nabakungu abetaba ku concert eno. Wabula, ekyaaliko nga ekyaakabi yye mukulembeze wegwanga President Yoweri Kaguta Museveni okubeela omugenyi omukulu ella nga kino kyasasamaza abantu banji.
Wabula, Catherine kusaasira yasunsulamu kubantu beyayita kumukolo ogwo nga wangubadde bobiwine mugandawe mubyokuyimba, ono yasalawo amuleke emabega. Kubantu abayimba kweekwali king micheal, Ronald mayinja nabalala banji.
Ensonga eyajjako catherine kusaasira wire yeya Ronald mayinja okuyimba enyimba ezivumaganya omukulembeze wegwanga natuuka nokwegayilila abategesi bajeko emiziindalo naye nga tewali kikolebwa. Gwe olowooza Ronald mayinja kyeyakola kyali kilungi oba yasuka weyandikomye?