By: Shifrah Kayaga: Luno silwaakugwa katti naye nomuyimbi winnie nwagi akyaalila kunsiko oluvanyuma lwa maid oba omukoziwe okwongela wiino yena abadde akolebwa ewa sk mbuga.
Ono weekend eno yona amawulile gabadde ku winnie nwagi nga bweyakuba omukoziwe namumenya omugongo okukakana nga asesema musaayi. Wabula abantu abenjawulo bazze banenya omukazi nga bagamba nti wankubadde nwagi yandiba alina empisa embi, naye nomukozi yasuse weyandikomye
Kinajukilwa nti embozi yali nti omukozi wa winnie nwagi yasba mukamawe agendeko mudwaalilo engeli jalina ekilwadde ekimutwaala ewomusawo buli kaseela. Wabula, olwabadde okugenda, ono najayo bottle yamukama we nwagi nakitwaala omudwaali alabe omusawo
Nwagi yagenze okutuuka ewaka yetegeke okugenda mu gym nga bottle yye tajilaba. Ono yakubidde house maid namubuuza wa jaali amulagilile bottle yye jeeli namugamba nti abade yajituteko mudwaalilo
Ono olwakomyeewo namukuba agakonde nga bwamubuuza ani yamugamba okukozesa ebintu bye nga tamusabye ella nga omukozi akwatamu mangu ebyanguya nga adukila ku police. Wabula webukeelede nga embeela yye yeyongedde okubeela obubbi oluvanyuma lwokuwebwa obujanjabi mudwaalilo e nansana
Naye ekyewunyisiza abantu yemukozi okutandika okubotola ebyaama nga nwagi wabadde amukozesa emilimu kyoka nga obusente amuwa butono. Ono yayongedeko nti nwagi abadde akozesa ebilagala nokuyingiza abasajja abenjawulo buli lukya
laba video